Richard Sebamala
Richard Sebamala (yazaalibwa 22 Ogwoluberyeberye 1997) yinginiya w'ebyobuzimbi, musuubuzi era munnabyabufuzi Munnayuganda aweereza ng'omubaka mu Paalamenti akiikirira ekitundu kya Bukoto ey'amasekkati mu Paalamenti ya Uganda okuva okuva mu 2021 okutuusa leero mu 2026.[1] [2]Yasooka okulondebwa mu kifo kino nga 14 Ogwoluberyeberye 2021 mu kulonda kwa Uganda okwa bonna okwa 2021. [3]
Mmemba w'ekibiina kya Democratic Party ekya Uganda.[4] Mu Paalamenti ya Uganda aweereza nga nga mmemba ku kakiiko k’ebizimbibwa akalondoola minisitule y’ettaka n’amayumba saako ne minisitule y’emirimu n’entambula nga kw’otadde n’okubeera mmemba ku kakiiko akavunaanyizibwa ku kulondoola emirimu gy'ebitongole bya gavumenti ka COSASE [5][6]
Obuto bwe n'okusoma kwe
kyusaSebamala yazaalibwa nga 22 Ogwoluberyeberye 1979 e Bisanje mu Ssaza ly'e Buddu mu Disitulikiti y’e Masaka mu masekkati ga Uganda nga bazadde be ye Mwami Cyrus Ndawula omukanisi w'amasanyalaze ne Betty Elizabeth Nannyonga omusawo omuzaalisa.[7] Pulayimale yagimalira mu Nazareth Boarding Primary School, nagenda ku Bukalasa Seminary ku mutendera gwa siniya ey'okuna naatuula siniya ye eyomukaaka ku Namilyango College mu 2000. Mu 2001, yeegatta ku Yunivasite y'e Kyambogo naatikkirwa mu 2005 ne ddiguli esooka mu bwayinginiya bw'okuzimba.[8] Era alina ddiguli ey'okubiri mu bukulembeze n'okuddukanya emirimu okuva ku ttendekero lya Uganda Management Institute.[9][10][11]
Emirimu gye.
kyusaNga tannatikkirwa ku yunivasite y’e Kyambogo mu 2004, Sebamala yaweereza ng’omutendeke mu kkampuni ya Zzimwe Construction Company, kkampuni ya Uganda ekola enguudo . Abaddeko mu bifo eby’enjawulo ebya yinginiya mu kkampuni ez’enjawulo nga Dayirekita mu Ddaki Technical Services (2006), Contract Manager mu Multiplex Uganda Limited (Ogwomwenda 2009-Ogwokubiri 2010), nga Dayirekita mu Multix Limited (kampuni ya yinginiya) 2010-2013 nga tannaba kwegatta ku Gavumenti ez’ebitundu mu Disitulikiti y’e Iganga nga yinginiya omukulu (2013-2019). [12] Mu kiseera kino, Sebamala akola bizinensi y’okuyingiza n’okufulumya ebintu mu kibuga Kampala. [13]
Eby'obufuzi
kyusaNga 14 Ogusooka 2021, yalondebwa ng'omubaka mu Paalamenti akiikirira ekitundu ky'e Bukoto ey'amasekkati mu Disitulikiti y'e Masaka mu Paalamenti ya Uganda ey'ekkumin'emu (2021 okutuuka 2026) mu kulonda kwa bonna okwa 2021 mu Uganda era nga 20 Ogwokutaano 2021 yalayizibwa ku bwa Mmemba wa Paalamenti . [14]Sebamala yawangula n'obululu 9916 nga yawangula eyali omumyuka wa Pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi eyali aweerezza ng'omubaka mu Paalamenti ya Uganda ow'Essaza ly'e Bukoto ey'amasekkati okuva mu 1996 .[7][15][16]Yali omu ku ba mmemba b'ekibiina ki Democratic party abana abeesamba endagaano y'okukolagana eyateekebwako omukono wakati w'ekibiina ekifuga ki National Resistance Movement ne DP eyavaamu pulezidenti wa Democratic Party Nobert Mao okulondebwa pulezidenti Museveni nga Minisita w'Obwenkanya n'ensonga za Ssemateeka.Oluvannyuma lw'ebyo, Sebamala yalaga obwagazi bw'okuvuganya Mao mu lwokaano lw'okulonda pulezidenti wa Democratic party okwali kuddako[17] naye yaggyibwa nti a mu lwokaano ku nsonga z'obutaba na bisaanyizo bya kibiina ommuli n'ekyekiseera ng'ayagala okwesimbawo ku kifo ekyo ateekeddwa okuba ng'amaze wakiri ebbanga lya myaka kkumi nga mmemba nga tannatuusa kwesimba ku kifo ekyo ekya pulezidenti w'ekibiina.[18]Abalala abastu mwalimu Richard Lumu owa Mityana ey'Obukiika ddyo, owa Buikwe ey'Obukiika ddyo n'owessaza lya Kyotera John Paul Mpalanyi.[19] Yaddamu naavuganya ku kifo kya paalamenti ekya Bukoto ey'amasekkati mu Disitulikiti y'e Masaka eyaawamu naawangula.[2][20][21]
Obulamu bwe ng'omuntu
kyusaSebamala mufumbo eri Joanitah Mbabazi era bombi balina abaana bataano.[22] Mmemba w'ekibiina kya Democratic Party ekya Uganda . [23]
Laba ne
kyusa- Paalamenti ya Uganda
- Ababaka ba Paalamenti ya Uganda ey'ekkumineemu
- Okulonda kwa Uganda okwa bonna okwa 2021
Ebijuliziddwa
kyusa- ↑ "Sebamala Richard – 2021 General Election – Visible Polls". visiblepolls.org. Retrieved 2021-06-30.
- 1 2 List of members of the twelfth Parliament of Uganda
- ↑ Independent, The (2021-03-22). "Voter seeks to overturn victory of Ssekandi's rival". The Independent Uganda: (in American English). Retrieved 2026-09-09.
{{cite web}}: CS1 maint: extra punctuation (link) - ↑ "Bukoto Central Constituency – 2021 General Election – Visible Polls". visiblepolls.org. Retrieved 2021-06-30.
- ↑ Paskazia (2018-09-24). "Public Accounts Committee-COSASE". www.parliament.go.ug (in Lungereza). Archived from the original on 2024-05-28. Retrieved 2026-09-09.
- ↑ Independent, The (July 28, 2021). "New COSASE members cautioned on corruption".
- 1 2 "Many thought I was crazy daring to unseat VP Ssekandi - Sebamala". Monitor (in Lungereza). 2021-04-24. Retrieved 2026-09-09.
- ↑ "Know your MP-elect: Richard Sebamala". New Vision.
- ↑ "Many thought I was crazy daring to unseat VP Ssekandi – Sebamala". Monitor. 2021-04-24. Retrieved 2025-08-18.
- ↑ mikessegawa (2021-04-08). "10 questions for Parliament Speaker aspirant, Engineer Richard Sebamala". Watchdog Uganda. Retrieved 2021-06-30.
- ↑ Writer, JAVIRA SSEBWAMI | PML Daily Staff (2019-12-04). "Youthful civil engineer Sebamala moves to unseat VP Ssekandi from Bukoto Central". PML Daily. Retrieved 2021-06-30.
- ↑ Reporter, NewVision (2021-01-29). "Politics: Know your MP-elect: Richard Sebamala". New Vision. Retrieved 2026-09-12.
- ↑ "Archive copy". Archived from the original on 2021-07-09. Retrieved 2025-09-21.
{{cite web}}: CS1 maint: archived copy as title (link) - ↑ "Sebamala Richard - 2021 General Election - Visible Polls". visiblepolls.org (in Lungereza). Retrieved 2026-09-12.
- ↑ "Know your MP-elect: Richard Sebamala". New Vision. Retrieved 2021-06-30.
- ↑ TUWAYE: Richard Sebamala ayogera ku bintu omuvubuka by'alina okwekwata okusobola okufuna ssente, retrieved 2021-06-30
- ↑ "Eby'okusiguukulula Mao mu DP Bizzeemu, Richard Sebamala Yeewera Kumuwangula - BBS Terefayina". bbstv.ug. Retrieved 2026-09-12.
- ↑ "Mao secures 4th term as DP president amid chaos". Monitor (in Lungereza). 2025-06-03. Retrieved 2026-09-12.
- ↑ Independent, The (2022-07-22). "Democratic Party MPs call for Mao's resignation". The Independent Uganda: (in American English). Retrieved 2026-09-12.
{{cite web}}: CS1 maint: extra punctuation (link) - ↑ "Sebamala eager to show 2021 win was not a fluke". Monitor (in Lungereza). 2025-08-10. Retrieved 2026-09-12.
- ↑ https://www.facebook.com/NTVUganda/posts/incumbent-richard-ssebamala-has-been-declared-the-member-of-parliament-elect-for/1373184451518802/
- ↑ BAMULANZEKI, NICHOLAS (2021-08-13). "Richard Sebamala, accidental politician eyeing global clout". The Observer Media Ltd (in American English). Retrieved 2026-09-12.
- ↑ "Bukoto Central Constituency - 2021 General Election - Visible Polls". visiblepolls.org (in Lungereza). Retrieved 2026-09-12.
Ebijuliziddwa w'abweru wa Wikipedia.
kyusa- Ebikwata ku bulamu bwe
- Richard Sebamala.